Numbers 22:3-11

3 aMowaabu n’atya nnyo kubanga abantu abo baali bangi nnyo. Mowaabu okutya abaana ba Isirayiri ne kumusukkirira.

4Awo Mowaabu n’agamba abakulembeze ba Midiyaani nti, “Ogubiina gw’abantu bano bajja kulya byonna bye tuli nabyo ebitwetoolodde ng’ente bw’erya n’esaanyaawo omuddo ogw’oku ttale.”

Balaki mutabani wa Zipoli, eyali kabaka wa Mowaabu mu biseera ebyo,
5 bn’atuma ababaka eri Balamu mutabani wa Byoli, eyali mu Pesoli, ekiriraanye Omugga, mu nsi y’ewaabwe, okumuyita ng’amugamba nti,

“Abantu bali wano, baavudde mu Misiri, basaanikidde ensi yonna we batudde; basiisidde wano okunninaana.
6 cKale nno, nkusaba ojje onkolimirire abantu bano, kubanga bampitiridde amaanyi. Oboolyawo lwe ndisobola okubawangula ne mbagoba mu nsi yange. Kubanga mmanyi nga gw’okolimira akolimirwa, ne gw’osabira omukisa aweebwa omukisa.”

7 dAwo ababaka abaatumibwa, abaali abakulembeze ba Mowaabu n’abakulembeze ba Midiyaani, ne basitula nga batutte n’ensimbi ez’okumusasula. Bwe baatuuka eri Balamu ne bamutegeeza obubaka Balaki bwe yabatuma.

8 eBalamu n’abagamba nti, “Musule wano leero, nange nnaabatuusaako ekigambo Mukama ky’anaaba aŋŋambye.” Bwe batyo abakungu abaava mu Mowaabu ne basula ewa Balamu.

9 fKatonda n’ajja eri Balamu n’amubuuza nti, “Bantu ki bano abali naawe?” 10Balamu n’addamu Katonda nti, “Balaki mutabani wa Zipoli, Kabaka wa Mowaabu ye yampeereza obubaka buno ng’agamba nti, 11‘Abantu abavudde mu Misiri basaanikidde ensi we batudde. Kale nno jjangu obankolimirire. Oboolyawo ekyo kiyinza okunsobozesa okubalwanyisa ne mbagoba mu nsi yange.’ ”

Copyright information for LugEEEE